Okubikkulirwa 20:7-9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Setaani Azikirizibwa
7 (A)Awo emyaka olukumi bwe giriggwaako, Setaani aliteebwa okuva mu kkomera lye. 8 (B)Alifuluma okulimbalimba Googi ne Magoogi, ge mawanga ag’omu nsonda ennya ez’ensi, era alikuŋŋaanya abantu ne baba eggye ery’okulwana eritasoboka na kubalika nga liri ng’omusenyu ogw’oku lubalama lw’ennyanja. 9 (C)Ne bambuka basale olusenyi olunene olw’ensi balyoke bazingize abatukuvu okuva ku buli luuyi lw’ekibuga ekyagalwa. Kyokka omuliro ne guva mu ggulu ne gubookya era ne gubamalawo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.