Matayo 2:20-23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 n’amugamba nti, “Golokoka ozzeeyo Omwana ne nnyina mu Isirayiri, kubanga abaali baagala okutta Omwana bafudde.”
21 Yusufu n’asitukiramu n’azzaayo Omwana ne nnyina mu nsi ya Isirayiri. 22 (A)Naye bwe yatuuka mu kkubo n’atya nnyo bwe yawulira nga Alukerawo[a] mutabani wa Kerode ye yali alidde obwakabaka. Mukama n’amulabulira nate mu kirooto aleme kugenda Buyudaaya, bw’atyo n’alaga e Ggaliraaya 23 (B)n’atuuka mu kibuga ky’e Nazaaleesi, ne babeera omwo. Ebigambo bya bannabbi bye baayogera biryoke bituukirire nga bagamba nti: “Aliyitibwa Munnazaaleesi.”
Read full chapterFootnotes
- 2:22 Alukerawo yali mutabani wa Kerode nga yafuga Buyudaaya ne Samaliya, era yafugira emyaka kkumi gyokka. Yali mukambwe nnyo ate nga wa ttima, kyeyava aggyibwa ku bufuzi, n’oluvannyuma ebitundu ebyo bye yafuganga, byafugibwa abaamasaza abaali balondeddwa Kayisaali.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.